Isaiah 22:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye laba, ate kati ssanyu na kujaganya, kubaaga nte na kutta ndiga, kulya nnyama na kunywa mwenge: “Ka tulye, tunywe, anti enkya tujja kufa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye laba, ssanyu na kujaguza, okubaaga ente n’okutta endiga, okulya ennyama n’okunywa envinnyo. Mwogere nti, “Leka tulye, era tunywe kubanga enkya tunaafa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era, laba, ssanyu na kujaguza, kutta nte na kutta ndiga, kulya nnyama na kunywa mwenge. “tulye tunywe kubanga enkya tunaafa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mu kifo ky'ebyo, mmwe muzze mu ssanyu na kujaguza, kwettira nte na ndiga ne mulya ennyama, ne munywa omwenge, nga mugamba nti: “Ka tulye era tunywe kubanga enkya tujja kufa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era, laba ssanyu na kujaguza, kutta nte na kutta ndiga, kulya nnyama na kunywa mwenge: tulye tunywe kubanga enkya tunaafa.