Isaiah 22:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama w'Amagye yennyini y'ambikkulidde kino mu matu gange nti: “Mazima ddala ekibi kino tekiribasonyiyibwa okutuusa lwe mulifa.” Omukama Katonda w'Amagye bw'agambye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama ow’Eggye akimbikulidde n’aŋŋamba nti, “Ekibi kino tekirisonyiyibwa wadde okuggyibwawo okutuusa lw’olifa,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama ow'eggye yeeyakimbikkulira n'enkiwulira nti, “ Mazima obutali butuukirivu buno tebulisonyiyibwa okutuusa lwe mulifa,” bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye yennyini yaŋŋamba nti: “Mazima ekyonoono ekyo tekiribasonyiyibwa mmwe, okutuusa lwe mulifa.” Mukama Afugabyonna, Nnannyinimagye bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama ow'eggye ne yeebikkulira mu matu gange nti Mazima obutali butuukirivu buno tebulirongoosebwa okubavaako okutuusa lwe mulifa, bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye.