Isaiah 22:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda w'Amagye agamba bw'ati: “Genda ew'omuweereza ono, eri Sebuna omukulu w'olubiri, omugambe nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Genda eri omuwanika oyo, eri Sabuna avunaanyizibwa olubiri omugambe nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye, nti, “Genda eri omuwanika oyo, ye Sebuna, ye mukulu w'ennyumba, omugambe nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna, Nnannyinimagye agamba nti: “Genda eri Sebuna oyo omuwanika akulira abakungu mu Ggwanga, omugambe nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama; Mukama ow'eggye, nti Weegendere eri omuwanika oyo, ye Sebuna, ye mukulu w'ennyumba, oyogere nti