Isaiah 22:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Oyagala ki wano? Ani yakuwa obuyinza olyoke weesimire wano entaana? Weesimira waggulu entaana nnyini, weewuukulira mu lwazi ekisulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okola ki wano era ani yakuwadde olukusa okwetemera entaana wano, n’otema n’amaanyi entaana yo waggulu mu lwazi, ne weerongoosereza eyo ekifo eky’okuwummuliramu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okola ki wano? Era ani gw'olina wano n'okutuuka n'otuuka okwetemera wano entaana, ng'otema entaana waggulu, nga ogyetemera mu lwazi?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Wano olinawo ki era olinawo ani otuuke n'okwesimira entaana mu lwazi?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okola ki wano? era ani gw'olina wano n'okwebajjira ne weebajjira wano entaana? ng'omubajjira entaana waggulu, nga yeetemera ennyumba mu lwazi!