Isaiah 22:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Weetegereze, ggwe ow'amaanyi, Omukama ajja kukukwatamu olukwata, akumegguze eri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Weegendereze Mukama Katonda anaatera okukuvumbagira, akuggyewo ggwe omusajja ow’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, Mukama alikukasuka lwa maanyi gwe omusajja ow'amaanyi; weewaawo, alikunywereza ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale Mukama alikuvumbagira wadde wafuna obukulu, n'akukasuka lwa maanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, Mukama alikukasuka lwa maanyi ng'omusajja ow'amaanyi; weewaawo, alikusabikira ddala.