Isaiah 22:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ddala ajja kukuzingazinga ng'omupiira, akukanyuge eri mu nsi eyeetadde; eyo gy'olifiira; era eyo ebigaali byo ebirungi obulala gye biribeera, ggwe ensonyi eri ennyumba ya mukama wo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alikuzingazingako, n’akukanyuga mu nsi engazi, nga bwe yandikanyuze omupiira ogusambwa. Eyo gy’olifiira, era eyo amagaali go ag’ekitiibwa gye galisigala, ggwe ensonyi ez’ennyumba ya Mukama wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Talirema kukyuka n'akukasuka ng'omupiira mu nsi engazi; eyo gy'olifiira, era eyo amagaali ag'ekitiibwa kyo gye galibeera, ggwe ensonyi z'ennyumba ya mukama wo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala alikyuka n'akuwuuba n'akukasuka ng'omupiira n'akusuula mu nsi engazi. Eyo gy'olifiira, era eyo ye walisigala amagaali ge weenyumirizaamu. Olikwasa ensonyi ab'ennyumba ya mukama wo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Talirema kukyuka n'akukasuka ng'omupiira mu nsi engazi; eyo gy'olifiira, era eyo amagaali ag'ekitiibwa kyo gye galibeera, ggwe ensonyi z'ennyumba ya mukama wo.