Isaiah 22:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kumusimba ng'enkondo mu kifo ekinywevu, aliba nnamulondo ey'ettendo eri ennyumba ya kitaawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndimunyweza mu kifo ng’enkondo ennene, era aliba ntebe ya kitiibwa eri ennyumba ya kitaawe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndimukomerera ng'enninga okumunyweza mu kifo kye, era aliba ntebe ya kitiibwa eri ennyumba ya kitaawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndimukomerera ng'enkondo n'anywera mu kifo kye, era aliweesa ekitiibwa ab'ennyumba ya kitaawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndimukomerera ng'enninga mu kifo ekinywevu; era aliba ntebe ya kitiibwa eri ennyumba ya kitaawe.