Isaiah 22:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitiibwa kyonna eky'ennyumba ya kitaawe kyesigamye ku ye, abaana n'abazzukulu, buli bibumbe byayo byonna, okuva ku bikopo okutuuka ku nsumbi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitiibwa ky’ennyumba ye kiribeera ku nnyumba ye, ne ku zadde lye ne ku nda ye yonna, ne ku bintu bye ebinywerwamu, okuva ku bibya okutuuka ku nsumbi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitiibwa kyonna eky'ennyumba ya kitaawe, kiribeera ku nnyumba ye, ne ku zadde lye ne ku nda ye yonna, ne ku bintu bye okuva ku bukompe okutuuka ku matogero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye baganda be bonna na buli wa lulyo lwe, balimutikka buli kizibu eky'ab'ennyumba ya kitaawe. Bonna balyerippa ku ye ng'obuleku n'ennyendo era n'ebita byonna bwe biwanikibwa ku nkondo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era balimuwanikako ekitiibwa kyonna eky'ennyumba ya kitaawe, ab'enda n'ezzadde, buli kintu ekitono, okuva ku bukompe okutuuka ku bita byonna.