Isaiah 22:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo,” Omukama w'Amagye y'ayogera, “enkondo ekomereddwa mu kifo ekinywevu erisimbuka; egenda kukuulibwa egwe, n'obuzito bwonna obugiwanikiddwako bulitemwawo.” Omukama y'ayogedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Katonda ow’Eggye nti, “Ku lunaku olwo, enkondo ennene eyakomererwa mu kifo n’enywera erisalibwa, n’eneguka, n’egwa, n’omugugu gw’ekutte gulisarwako.” Mukama ayogedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama ow'eggye, enninga eyakomererwa mu kifo okumunyweza mu kifo kye erisimbuka, n'egwa, n'omugugu ogwali ku yo gulisalibwako, ekyo Mukama akyogedde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Ekiseera ekyo bwe kirituuka, enkondo eyali ekomereddwa mu kifo kyayo n'enywera, erisimbukayo n'egwa, era eyo ye eriba enkomerero y'ebyo ebigiwanikiddwako.” Mukama ye ayogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama ow'eggye, enninga eyakomererwa mu kifo ekinywevu erisimbuka; era eritemebwawo n'egwa, n'omugugu ogwali ku yo gulisalibwako; kubanga Mukama akyogedde.