Isaiah 22:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafuzi bammwe bonna baddukidde wamu, bawambiddwa awatali na kasaale kalasiddwa; mwenna abaawambibwa, mwatwalibwa wamu mu busibe newandibadde nga baali baddukidde wala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakulembeze bo bonna baddukidde wamu; bawambiddwa awatali kulwana. Bonna baakwatibwa ne batwalibwa wamu nga basibe, kubanga badduka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakufuga bonna baddukira wamu, bawambiddwa awatali kulwana, bonna abaasangibwa bakwatibwa ne batwalibwa wamu nga basibe, newakubadde nga baali baddukira wala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakulembeze bo bonna, baddukira wamu ne bawambibwa nga tebalasizza na kasaale, bonna abasangiddwa mu ggwe bawambiddwa wamu, wadde baali baddukidde wala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakufuga bonna baddukira wamu, baasibibwa abalasi: bonna abaasangibwa ku babo baasibirwa wamu, baddukira wala.