Isaiah 22:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyenvudde ŋŋamba nti: “Munveeko, mutunule eri; ka nkaabe n'ennyiike; muleke kunkubagiza olw'okuzikirira kw'abaana bange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyenava njogera nti, “Munveeko, mundeke nkaabire ddala nnyo. Temugezaako kunsaasira olw’okuzikirizibwa kw’omuwala w’abantu bange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyennava njogera nti, “Munveeko, mundeke nkabire ddala nnyo; temutegana kunsanyusa olw'okunyagibwa kw'omuwala w'abantu bange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyenva ŋŋamba nti: Muveewo, temuntunuulira! Mundeke ndire, nkungubage. N'okunkubagiza temutegana olw'abantu bange be nfiiriddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyennava njogera nti Mukyuse amaaso gammwe obutandaba, naakaaba nnyo amaziga; temutegana kunsanyusa olw'okunyagibwa kw'omuwala w'abantu bange.