Isaiah 22:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama Katonda w'Amagye ategeseewo olunaku olw'akasattiro, okulinnyirira n'entiisa mu Kiwonvu ky'Okulabikirwa; olunaku olw'okumenya ebigo n'okuyoogaanira ku nsozi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku olw’akatabanguko, olw’okulinyirirwa n’entiisa mu Kiwonvu ky’Okwolesebwa; olunaku olw’okumenya bbugwe, n’okukaabirira ensozi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama ow'eggye alina olunaku olw'akatabanguko, olw'okulinnyiririrwako, era olw'okubuusizabuusizaako, mu kiwonvu eky'okwolesebwa; okumenyamenya bbugwe, n'okukaaba eri ensozi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kino kiseera kya kwaziirana era kya kunyigirizibwa; kiseera kya kusoberwa, Mukama, Afugabyonna, Nnannyinimagye ky'atutuusizzaako mu Kiwonvu ky'Okulabikirwa! Ebisenge by'ekibuga kyaffe bimenyeddwa, emiranga gy'abasaba obuyambi ne giwulirwa mu nsozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga lwe lunaku olw'okukeŋŋentererwako era olw'okulinnyirirwako, era olw'okubuusizabuusizaako, oluva eri Mukama, Mukama ow'eggye mu kiwonvu eky'okwolesebwa; okumenyamenya bbugwe, n'okukaaba eri ensozi.