Isaiah 22:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebiwonvu byo ebirungi ddala bijjudde ebigaali, ate abeebagadde embalaasi basimbiddwa ku miryango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebiwonvu byo ebisinga obulungi bijjudde amagaali, n’abeebagala embalaasi bassibbwa ku wankaaki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka ebiwonvu byo ebisinga obulungi ne bijjula amagaali, n'abeebagala embalaasi, ne batassibwa ku miryango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ebiwonvu bya Buyudaaya ebisingayo obugimu, amagaali ne gabijjulamu. Abeebagadde embalaasi ne batalira mu miryango gy'Ekibuga Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka ebiwonvu byo ebisinga obulungi ne bijjula amagaali, n'abeebagala embalaasi, ne batalira mu mulyango.