Isaiah 22:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aggyeewo ebitaasa Yuda. Ku olwo mwerabirako ku byokulwanyisa by'Olubiri lw'Ekibira;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okwerinda kwa Yuda kuggyiddwawo. Ku lunaku olwo watunuulira ebyokulwanyisa eby’omu Lubiri olw’Ekibira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aggyawo ekibikka ku Yuda; n'otunuulira ku lunaku luli eby'okulwanyisa ebyali mu nnyumba ey'omu kibira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eby'okwerinda kwa Buyudaaya ne biba nga biggyiddwawo. Kale ebyo bwe byaba bityo, olwo ne mukyukira ebyokulwanyisa ebyali mu luyitibwa Olubiri lw'ekibira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aggyawo ekibikka ku Yuda; n'otunuulira ku lunaku luli ebyokulwanyisa ebyali mu nnyumba ey'omu kibira.