Isaiah 23:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obubaka ku Tiiro: Mukube ebiwoobe, mmwe amaato ga Tarusisi, kubanga Tiiro kizikiridde, tewasigadde nnyumba oba mwalo; amawulire ago gaabatuukako nga gava e Kittimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obunnabbi obukwata ku Tuulo: Mukube ebiwoobe, mmwe ebyombo by’e Talusiisi, kubanga Tuulo kizikirizibbwa ne mutasigala nnyumba newaakubadde ebyombo we biyinza okugobera. Ekigambo kyababikulirwa okuva mu nsi ya Kittimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omugugu gwa Ttuulo. Mukube ebiwoobe, mmwe ebyombo eby'e Talusiisi, kubanga kifuuse matongo, temukyali nnyumba oba mwalo, kibabikkuliddwa okuva mu nsi ya Kittimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino bye byalangibwa ku Tiiro: Mukube ebiwoobe mmwe emmeeri z'e Tarusiisi! Ekibuga kyammwe Tiiro kizikiridde: tewakyali mayumba na mwalo. Amawulire ago gabatuuseeko, nga muva mu nsi y'e Kittimu. 11:21-22; Luk 10:13-14
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omugugu gwa Ttuulo. Muwowoggane, mmwe ebyombo eby'e Talusiisi; kubanga kizise, obutabaamu nnyumba newakubadde okuyingiramu; bakibikkuliddwa okuva mu nsi ya Kittimu.