Isaiah 23:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe muwala wa Tarusisi, lima ensi yo okufaanana ng'olubalama lwa Kiyira, kubanga tokyalina mwalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bw’otambula ku lukalu lwonna olw’omugga Kiyira, tokyalina kifo ebyombo we bituukira ggwe muwala wa Talusiisi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yita mu nsi yo nga Kiyira, ggwe muwala wa Talusiisi; tewakyali lukoba lukusiba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwanjaale mu nsi yammwe ng'Omugga Kiyira mmwe abatuuze b'e Tarusiisi. Tewakyaliwo abaziyiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yita mu nsi yo nga Kiyira, ggwe muwala wa Talusiisi; tewakyali lukoba olukusiba.