Isaiah 23:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama agololedde omukono gwe ku nnyanja, ayuuguumizza obwakabaka; awadde ekiragiro ku Kanaani okuzikiriza ebigo byakyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda agolodde omukono gwe eri ennyanja, n’akankanya obwakabaka bwayo. Awadde ekiragiro ekikwata ku Kanani nti ebigo byakyo birizikirizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Agolodde omukono gwe ku nnyanja, anyeenyezza obwakabaka, Mukama alagidde eby'e Kanani, okuzikiriza ebigo byamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agolodde omukono gwe ku nnyanja, n'ayuuguumya obwakabaka. Alagidde ebigo ebigumu eby'Ekibuga Kanaani bizikirizibwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Agolodde omukono gwe ku nnyanja, anyeenyezza obwakabaka: Mukama alagidde eby'e Kanani, okuzikiriza ebigo byamu.