Isaiah 23:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: “Tokyaddayo kubinuka, ggwe embeerera muwala wa Sidoni abetenteddwa. Situka, wungukira e Kittimu; naye nayo tolisangayo buweerero.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yayogera nti, “Tokyaddayo kukola bya masanyu nate, ggwe muwala wa Sidoni embeerera obetenteddwa. Yambuka osomoke ogende e Kittimu, naye nayo tolifunirayo kuwummula.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Tokyaddayo kusanyuka, ggwe muwala wa Sidoni ajoogebwa; golokoka, owunguke ogende e Kittimu; era n'eyo toliba na kuwummula.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano agambye nti: “Ggwe Ekibuga Sidoni okusanyuka kwo kukomye, n'abantu bo banyigirizibwa. Ne bwe banaddukira e Kittimu, nayo tebalifuna kiwummulo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Tokyeyongera kusanyuka, ggwe muwala wa Zidoni ajoogebwa: golokoka, owunguke ogende e Kittimu; era n'eyo toliba na kuwummula.