Isaiah 23:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tunuulira ensi y'Abakaludeya; be bantu, sso si Bassuri, abafudde Sidoni ekisulo ky'ebisolo. Beezimbira eminaala egy'okulumba, ebigo byakyo ne babisuula ku ttaka, ne bakifuula bifulukwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba ensi ey’Abakaludaaya abantu abo abatakyaliwo. Omwasuli agifudde ekifo ekibeeramu ensolo ez’omu ddungu. Baayimusa eminaala gyabwe, ne bamenya ebigo byabwe, era n’abazikiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ensi ey'Abakaludaaya; eggwanga lino terikyaliwo; Omwasuli agifudde ey'ensolo ez'omu ddungu. Baazimba eminaala gyabwe, ne bamenya ebigo byabwe, ne baasuula amayumba gaamu era n'abazikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baali Bakaludaaya sso si Bassiriya abafuula Tiiro eky'ensolo ez'omu nsiko. Baakizimbako eminaala okukizingiza, ne bamenya amayumba gaamu, ne bazikiriza byonna ebirimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ensi ey'Abakaludaaya; eggwanga lino terikyaliwo; Omwasuli agifudde ey'ensolo ez'omu ddungu: baazimba ebigo byabwe, baasuula amayumba gaamu; yabizikiriza.