Isaiah 23:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo Tiiro kiryerabirwa okumala emyaka nsanvu ng'ebbanga ery'omulembe gwa kabaka omu. Emyaka ensanvu nga giyise, ekirigwa ku Tiiro kiriba nga bwe bayimba mu luyimba lwa malaaya nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo Tuulo kiryerabirwa okumala emyaka nsanvu, gy’emyaka kabaka gy’awangaala. Naye oluvannyuma lw’emyaka egyo ensanvu, ekirituuka ku Tuulo kiriba ng’ekiri mu luyimba olw’omwenzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka ku lunaku luli Ttuulo kiryerabirirwa emyaka nsanvu (70), ng'ennaku za kabaka omu bwe ziriba: emyaka nsanvu (70) nga giweddeko ebiriba ku Ttuulo biriba ng'ebiri mu luyimba olw'omwenzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera kijja kutuuka, Tiiro kyerabirwe okumala emyaka nsanvu, ng'egya kabaka omu gy'awangaala. Ensanvu egyo bwe giriggwaako, ebiribeera mu Tiiro, biriba ng'ebiri mu luyimba oluyimbibwa ku malaaya:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka ku lunaku luli Ttuulo kiryerabirirwa emyaka nsanvu, ng'ennaku za kabaka omu bwe ziriba: emyaka nsanvu nga giweddeko ebiriba ku Ttuulo biriba ng'ebiri mu luyimba olw'omwenzi.