Isaiah 23:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'emyaka ensanvu giyise, Omukama alirambula Tiiro, olwo nno ate kiridda mu busuubuzi bwakyo, kirikola obwamalaaya n'obwakabaka bw'amawanga gonna agali ku nkulungo y'ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’emyaka ensanvu, Mukama alikyalira Tuulo. Aliddayo ku mulimu gwe ogw’obwamalaaya, era alibukola mu bwakabaka bwonna obuli ku nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka emyaka nsanvu (70) nga giweddeko, Mukama alijjira Ttuulo, naye aliddira empeera ye, era alyenda n'obwakabaka bwonna obw'ensi obusaasaanidde wonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emyaka ensanvu bwe giriggwaako, Mukama alireka Tiiro kidde ku bye kyakolanga edda. Kiriddamu okusuubulagana n'obwakabaka bwonna mu nsi, yonna gye busaasaanidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka emyaka nsanvu nga giweddeko Mukama alijjira Ttuulo, naye aliddira empeera ye, era alyenda n'obwakabaka bwonna obw'ensi obusaasaanidde wonna.