Isaiah 23:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye eby'amaguzi byakyo n'amagoba birisingirwa Katonda; tebiriterekebwa yadde okutuumibwa awamu, wabula eby'amaguzi byakyo biriweerezebwa abo ababeera mu maaso g'Omukama bafune ebyokulya bingi n'engoye amakula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula amagoba ge ne byalifunamu biriyawulibwako bibe bya Mukama, tebiriterekebwa newaakubadde okukwekebwa, omuntu okubikozesa by’ayagala. Amagoba ge galigenda eri abo ababeera mu maaso ga Mukama, basobole okuba n’emmere emala, n’okuba n’ebyambalo ebirungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ebibye eby'obuguzi n'empeera ye biriba bitukuvu eri Mukama, tebiriterekebwa so tebiriwanikibwa; kubanga ebibye eby'obuguzi biriba by'abo abatuula mu maaso ga Mukama, okulyanga okukkuta, n'okuba ebyambalo ebirungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bye kirisuubula byonna era n'amagoba, biriwongerwa Mukama. Tekiribyetuumako, wadde okubyeterekera mu mawanika, naye abasinza Mukama be balibikozesa okugula emmere gye balya ebamala, n'engoye ennungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebibye eby'obuguzi n'empeera ye biriba butukuvu eri Mukama: tebiriterekebwa so tebiriwanikibwa; kubanga ebibye eby'obuguzi biriba by'abo abatuula mu maaso ga Mukama, okulyanga okukkuta, n'okuba ebyambalo ebigumu.