Isaiah 23:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kwatibwa ensonyi, ggwe Sidoni, kubanga ennyanja eyogedde, ggwe ekigo ky'ennyanja nti: “Nze sirumwangako yadde okuzaala, sikuzanga baana balenzi yadde abawala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okwatibwe ensonyi ggwe Sidoni naawe ggwe ekigo ky’ennyanja, kubanga ennyanja eyogedde nti: “Sirumwangako kuzaala wadde okuzaalako. Sirabiriranga baana babulenzi newaakubadde okukuza abaana aboobuwala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kwatibwa ensonyi, ggwe Zidoni: kubanga ennyanja eyogedde, ekigo eky'ennyanja, nti, “Sinnalumwa kuzaala, so sinnazaala, so sinnayonsa balenzi, so sinnalera bawala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kwatibwa ensonyi ggwe Sidoni, ekibuga ky'ennyanja ekigumu, kubanga weegaanye nti: “Sirumwanga kuzaala era sizaalanga ku mwana. Siyonsanga mwana wa bulenzi, wadde okwola ow'obuwala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kwatibwa ensonyi, ggwe Zidoni: kubanga ennyanja eyogedde, ekigo eky'ennyanja, nti Sinnalumwa kuzaala, so sinnazaala, so sinnayonsa balenzi, so sinnalera bawala.