Isaiah 23:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani yategekera Tiiro ekintu kino, ekyo ekyatikkiranga engule, abasuubuzi baakyo nga bakungu, ekyalina abatunzi abatutumufu mu nsi?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani eyateekateeka kino okutuuka ku Tuulo, Tuulo ekitikkira engule, ekibuga ekirina abasuubuzi abalangira, ekirina abasuubuzi abamanyifu mu nsi?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani eyateekateeka kino ku Ttuulo, ekibuga ekitikkira engule, abasuubuzi baamu balangira, abatunzi baamu be b'ekitiibwa mu nsi?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ani yategeka okukola ebyo ku Tiiro ekibuga ekisuza bakabaka, nga n'abasuubuzi baamu baakitiibwa mu nsi?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani ateesezza kino ku Ttuulo, ekibuga ekitikkira engule, abasuubuzi baamu balangira, abatunzi baamu be b'ekitiibwa mu nsi?