Isaiah 23:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama w'Amagye ye yakitegeka, okufeebya olwetumbu lwa buli kitiibwa, n'okutoowaza abo bonna abatutumufu ku nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda ow’Eggye yakiteekateeka, amuggyemu amalala n’ekitiibwa kyonna, akkakkanye n’abo bonna abamanyifu ku nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama ow'eggye ye akiteesezza, okuvumisa amalala ag'ekitiibwa kyonna, okunyoomesa ab'ekitiibwa bonna ab'omu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye ye yakitegeka amalewo okwekuza okuli mu bitiibwa byonna, era alage bw'anyooma abeebitiibwa bonna ku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama ow'eggye ye akiteesezza, okuvumisa amalala ag'ekitiibwa kyonna, okunyoomesa ab'ebitiibwa bonna mu nsi.