Isaiah 24:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibuga ekyaseseggulwa kati matongo, buli nnyumba nzigale, tekyayingirwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibuga ekyazikirizibwa kisigadde nga matongo, na buli mulyango oguyingira mu nnyumba guzibiddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekibuga eky'okwetabula kimenyesemenyese, buli nnyumba eggaddwawo, omuntu yenna aleme okuyingiramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibuga kikyankalanye, buli omu yeggalira mumwe, abayingira tabakkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekibuga eky'okwetabula kimenyesemenyese: buli nnyumba eggaddwawo, omuntu yenna aleme okuyingiramu.