Isaiah 24:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nguudo baleekaana olw'ebbula ly'omwenge; essanyu lyonna obudde bulizibiridde, okusanyuka kuggweeredde ddala mu nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakaabira envinnyo mu nguudo, n’essanyu lyonna liweddewo, n’okujaguza kwonna tekukyaliwo mu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waliwo okukaaba mu nguudo olw'omwenge; essanyu lyonna liweddewo, ekinyumu eky'ensi kigenze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abali mu nguudo baleekaana kubanga tebalina mwenge. Ebinyumu tebikyakolebwa, essanyu lyonna ligenze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waliwo okukaaba mu nguudo olw'omwenge; essanyu lyonna lizikizibwa, ekinyumu eky'ensi kigenze.