Isaiah 24:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe kiriba kityo mu nsi, era ne mu mawanga, kyenkana nga bwe banyeenya omuti gw'oliva, ng'okulondalonda emizabbibu ng'amakungula gaagyo gawedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe kityo bwe kiriba ku nsi ne mu mawanga ng’omuzeyituuni bwe gunyeenyezebwa oba ng’ebinywa ebisigaddewo bwe bibeera oluvannyuma lw’okukungula kw’ezabbibu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bwe kiti bwe kiribeera wakati mu nsi mu mawanga, nga bwe bakuba omuzeyituuni, nga bwe balonda ezabbibu okunoga nga kuwedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe kityo bwe kiriba mu nsi, mu buli ggwanga. Kiriba nga bwe kibeera amakungula nga gawedde: ng'emizayiti ginogeddwa, nga n'emizabbibu tekukyali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bwe kiti bwe kiribeera wakati mu nsi mu mawanga, nga bwe bakuba omuzeyituuni, nga bwe balonda ezabbibu okunoga nga kuwedde.