Isaiah 24:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakangula ku maloboozi gaabwe, ne bayimba n'essanyu, baliyima ebuvanjuba ne babbiramu ekitiibwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bayimusa amaloboozi gaabwe, baleekaana olw’essanyu, batendereza ekitiibwa kya Mukama Katonda okuva mu bugwanjuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bano baliyimusa amaloboozi gaabwe, n'ebayimba olw'essanyu, olw'obukulu bwa Mukama nga batendereza okuva mu bugwanjuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo abaliba bawonyeewo, baliyimusa amaloboozi ne bayimba n'essanyu eringi, ne batenda ekitiibwa kya Mukama nga ku ludda oluliko ennyanja gye basinziira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bano baliyimusa eddoboozi lyabwe, balyogerera waggulu, olw'obukulu bwa Mukama baleekaana nga bayima ku nnyanja.