Isaiah 24:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ekyo, ebuvanjuba mugulumize Omukama; mutendereze erinnya ly'Omukama, Katonda wa Yisirayeli ku lubalama lw'ennyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo abo abali mu buvanjuba mugulumize Mukama, mutendereze erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri, mu bizinga eby’ennyanja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mugulumize Mukama ebuvanjuba, erinnya lya Mukama, Katonda wa Isiraeri, mu bizinga eby'omu nnyanja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abebuvanjuba balimutendereza. Abo ababeera okumpi n'ennyanja baligulumiza Mukama, Katonda wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale mugulumize Mukama ebuvanjuba, erinnya lya Mukama, Katonda wa Isiraeri, mu bizinga eby'omu nnyanja.