Isaiah 24:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tuwulira ennyimba eziva mu nsonda z'ensi nti: “Ekitiibwa kibeere eri Oyo Omutuukirivu.” Naye nze ŋŋamba nti: “Nzigwekerera, nzigwekerera! Zinsanze! Abalimba balyamu nkwe; n'obulimba bwabwe beeyongedde okulyamu enkwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tuwulira okuyimba okuva ku nkomerero y’ensi, “Ekitiibwa kibeere eri Omutuukirivu.” Naye ne njogera nti, “Nsanawo, nsanawo. Zinsaze. Ab’olukwe balya mu bannaabwe olukwe, Ab’enkwe bakozesa enkwe okulya mu bannaabwe olukwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tuwulidde ennyimba nga ziva ku nkomerero y'ensi, ekitiibwa kibeere eri omutuukirivu. Naye ne njogera nti, “Nkoozimba, nkoozimba, zinsanze! abalyazaamaanyi balyazaamaanyizza; weewaawo, abalyazaamaanyi balyazaamaanyizza nnyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tuliwulira ennyimba eziva ku nkomerero y'ensi nga zitenda Omutuukirivu. Kyokka nze ŋŋamba nti: Nzigwerera, nzigwerera, nga zinsanze nze! Kubanga abalyamu enkwe beeyongera okulyamu enkwe, era enkwe zaabwe zeeyongera bweyongezi!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tuwulidde ennyimba nga ziva ku nkomerero y'ensi, ekitiibwa eri abatuukirivu. Naye ne njogera nti Nkoozimba, nkoozimba, zinsanze! abalyazaamaanyi balyazaamaanyizza; weewaawo, abalyazaamaanyi balyazaamaanyizza nnyo.