Isaiah 24:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alidduka ng'awulidde ekyekango, aligwa mu bunnya; aliva mu bunnya, aligwa mu kitimba. Ebiyiriro by'eggulu bigguse, n'omusingi gw'ensi gukankana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli alidduka eddoboozi ery’entiisa, aligwa mu kinnya, na buli alirinnya n’ava mu kinnya alikwatibwa mu mutego. Enzigi z’eggulu ziguddwawo, N’emisingi gy’ensi gikankana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka oyo adduka eddoboozi ery'entiisa aligwa mu bunnya; n'oyo alinnya okuva mu bunnya omutego gulimukwata: kubanga ebituli ebya waggulu bigguddwawo, n'emisingi gy'ensi gikankana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo nga bimaze okubaawo olwo buli alidduka awone entiisa, aligwa ate mu bunnya. Oyo asituka n'avaayo mu bunnya, alikwatibwa olwo mu mutego. Enkuba erifukumuka okuva mu bire, emisingi gy'ensi ne ginyeenyezebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka oyo adduka eddoboozi ery'entiisa aligwa mu bunnya; n'oyo alinnya okuva mu bunnya wakati omutego gulimukwata: kubanga ebituli ebya waggulu bigguddwawo, n'emisingi gy'ensi ginyeenya.