Isaiah 24:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'abantu bwe bali, ne kabona bw'aliba; ng'omuddu bw'ali, ne mukama we bw'aliba; ng'omuzaana bw'ali, ne mugole we bw'aliba; ng'omuguzi bw'ali, n'omutunzi bw'aliba; ng'omuwozi bw'ali, n'omwewozi bw'aliba; ng'abanja bw'ali, n'abanjibwa bw'aliba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe kityo bwe kiriba, ekiriba ku kabona kye kiriba ne ku bantu, ekiriba ku mwami kye kiriba ne ku muweereza omusajja, ekiriba ku mugole we kye kiriba ne ku muweereza we omukazi, ekiriba ku atunda kye kiriba ne ku muguzi, ekiriba ku awola kye kiriba ne ku yeewola, ekiriba ku abanja kye kiriba ne ku abanjibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olulituuka ng'abantu bwe baliba, bw'atyo kabona bw'aliba; ng'omuddu bw'aliba, bw'atyo mukama we bw'aliba; ng'omuzaana bw'aliba, bw'atyo mugole we bw'aliba; ng'omuguzi bw'aliba, bw'atyo omutunzi bw'aliba; ng'awola bw'aliba, bw'atyo eyeewola bw'aliba; ng'aweebwa amagoba bw'aliba, bw'atyo amuwa amagoba bw'aliba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera kirituuka abantu bonna ne bayisibwa bumu: abantu baabulijjo ne bakabona, abaddu ne bakama baabwe, abazaana ne bagole baabwe, abaguzi n'abatunzi, abawola n'abo abeewola, asasula era n'oyo asasulwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)