Isaiah 24:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi etagala butagazi ng'omutamiivu, eyuuga ng'akasiisira k'omukuumi; obujeemu bwayo bugizitoowerera; bw'eneegwa, teddeyo kusituka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi etagala ng’omutamiivu, eyuugayuuga ng’akasiisira bwe kayuugayuuga mu kibuyaga, omusango gwe gumulumiriza nnyo olw’obujeemu bwe, era ensi egwa n’etaddamu kuyimuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensi eritagatta ng'omutamiivu, era eriyuuguumizibwa ng'ensiisira; n'okusobya kwayo kuligizitoowerera, era erigwa n'etegolokoka nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi eritagatta ng'omutamiivu, eriyuuguumizibwa ng'ensiisira, erizitoowererwa ebibi byayo, erigwa n'eteddayo kuyimuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensi eritagatta ng'omutamiivu, era eriyuuguumizibwa ng'ensiisira; n'okusobya kwayo kuligizitoowerera, era erigwa n'etegolokoka nate.