Isaiah 24:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balisibirwa wamu ng'abasibe abasibire mu nvuba, baliggalirwa mu kkomera, ate nga wayise ennaku nnyingi balibonerezebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balikuŋŋaanyirizibwa wamu ng’abasibe bwe bakuŋŋanyirizibwa mu kkomera, era baliweebwa ekibonerezo eky’okuggalirwa mu kkomera ennaku ennyingi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era balikuŋŋaanyizibwa wamu ng'abasibe bwe bakuŋŋaanyizibwa mu bunnya, era balisibirwa mu kkomera, era alibeerayo okumala ennaku.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'obuyinza abo n'abafuzi, balikuŋŋaanyizibwa wamu ng'abasibe abateekeddwa mu bunnya. Balisibirwa mu kkomera, era balibonerezebwa nga wayiseewo ennaku eziwera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era balikuŋŋaanyizibwa wamu ng'abasibe bwe bakuŋŋaanyizibwa mu bunnya, era balisibirwa mu kkomera, era ennaku nnyingi aga ziyiseewo balijjirwa.