Isaiah 24:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwezi guliswala n'enjuba ensonyi zirigikwata; kubanga Omukama w'Amagye aliramula ku lusozi Siyoni ne mu Yeruzaalemu, alyoleka abakadde ekitiibwa kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwezi gulitabulwatabulwa, n’enjuba eriswazibwa; Mukama Katonda ow’Eggye alifugira mu kitiibwa ku Lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi, ne mu maaso g’abakadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale omwezi, gulikwatibwa ensonyi, n'enjuba eriswala; kubanga Mukama ow'eggye alifugira ku lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi ne mu maaso g'abakadde be n'ekitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo omwezi gulikwata ekizikiza n'enjuba erigaana okwaka, kubanga Mukama Nnannyinimagye ye aliba kabaka ku Lusozi Siyooni, ne mu Yerusaalemu kyonna, ne mu maaso g'abakulembeze ekitiibwa kye kiryeyoleka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale omwezi gulikwatibwa ensonyi, n'enjuba eriswala; kubanga Mukama ow'eggye alifugira ku lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi, ne mu maaso g'abakadde be n'ekitiibwa.