Isaiah 24:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi ekaaba, ewotose, ensi eyongobedde, ekala; abatutumufu mu nsi bayongobedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi ekala n’eggwaamu obulamu, ensi ekala n’ewuubaala, abantu ab’ekitiibwa baggwaamu amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensi ewuubaala era neekala, ettaka liggwaamu amaanyi era likala, abantu abagulumivu ab'ensi baggwaamu amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ensi yonna ekala, ebigiriko ne biwotoka. Ensi eggwaamu amaanyi, buli kyayo ne kiyongobera. Abantu abeekitiibwa nabo balitoowazibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensi ewuubaala era esaanuuka, ettaka liggwaamu amaanyi era lisaanuuka, abantu abagulumivu ab'ensi baggwaamu amaanyi.