Isaiah 24:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi ejaajaamiziddwa abantu baayo, kubanga bamenye amateeka, boonoonye ebiragiro, bamenye endagaano ey'olubeerera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi eyonooneddwa abantu baayo, bajeemedde amateeka, bamenye ebiragiro, ne bamenyawo n’endagaano ey’emirembe n’emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ensi eyonooneddwa, abantu baayo abagituulamu; kubanga basobezza amateeka, ne bawaanyisa ekiragiro, ne bamenya endagaano eteriggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi abantu bagyonoonye olw'okumenya amateeka ga Mukama n'olw'okusobya by'alagira, ne bateekako n'okumenya endagaano ye eteri ya kuggwaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ensi esiigiddwako empitambi wansi w'abagituulamu; kubanga basobezza amateeka, ne bawaanyisa ekiragiro, ne bamenya endagaano eteriggwaawo.