Isaiah 24:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo ekikolimo ensi kigimazeewo, n'abantu baayo bazzizza omusango; n'olw'ekyo abagirimu bookeddwa, musigadde batono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo ekikolimo kimalawo ensi; n’abantu baayo bateekwa okusasula olw’omusango ogwabasinga. Abatuuze b’ensi bayidde, Era abatono be basigaddewo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekikolimo kyekyava kirya ensi, n'abo abagituulamu balabise nga gubasinze, abatuula mu nsi kyebaava bookebwa, abantu ne basigala batono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi kyevudde ekolimirwa, n'abatuuze baamu ne basingibwa omusango era bangi ne bazikirizibwa. Abasigalawo be batono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekikolimo kyekyava kirya ensi, n'abo abagituulamu balabise nga gubasinze: abatuula mu nsi kyebava bookebwa, abantu ne basigala batono.