Isaiah 24:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Evviini ensu ekalira n'omuzabbibu guwotose; bonna abaali ab'omutima omusanyufu basinda;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wayini omusu aggwaamu, n’omuzabbibu gukala, ab’amasanyu bonna bakaaba olw’obulumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwenge omusu guwuubaala, omuzabbibu guyongobera, bonna abalina emitima egisanyuka bassa ebikkowe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emizabbibu egisogolwa giwotose, omwenge gwagyo ne gukendeera. Abaali basanyuka bonna, kati bali mu kuwuubaala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwenge omusu guwuubaala, omuzabbibu guyongobera, bonna abalina emitima egisanyuka bassa ebikkowe.