Isaiah 24:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Essanyu ly'eŋŋoma lyakoma, emizira gy'ababinuka gyalekera awo; essanyu ly'entongooli lyakoma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okujaguza kw’ebitaasa kusirise, n’oluyoogaano lw’abo ababeera mu masanyu lusirise, entongooli esanyusa esirise.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekinyumu eky'ebitaasa kikoma, oluyoogaano lw'abo abasanyuka luggwaawo, essanyu ery'ennanga likoma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaali bakola ebinyumu nga bakubiramu ebivuga ng'eno bwe baleekaana, ebyo tebakyabikola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekinyumu eky'ebitaasa kikoma, oluyoogaano lw'abo abasanyuka luggwaawo, essanyu ery'ennanga likoma.