Isaiah 25:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, ggwe Katonda wange, nnaakugulumizanga, nnaatenderezanga erinnya lyo; kubanga okoze ebyamagero. Bye wateesa okuva edda bituufu era bikakafu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wange; ndikugulumiza ne ntendereza erinnya lyo, kubanga okoze ebintu eby’ettendo, ebintu bye wateekateeka edda, mu bwesigwa bwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, ggwe Katonda wange; nnaakugulumizanga, nnaatenderezanga erinnya lyo; kubanga okoze eby'ekitalo, bye wateesa edda, mu bwesigwa n'amazima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, ggwe Katonda wange. Nnaakugulumizanga, nnaatenderezanga erinnya lyo, kubanga okoze ebyamagero. Otuukirizza n'obwesigwa n'amazima ebyo bye wateesa edda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama, ggwe Katonda wange; naakugulumizanga, naatenderezanga erinnya lyo; kubanga okoze eby'ekitalo, bye wateesa edda, mu bwesigwa n'amazima.