Isaiah 25:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukono gw'Omukama guliwaŋŋama ku lusozi luno; naye Mowabu alirinnyirirwa wansi we ng'essubi bwe lirinnyirirwa mu kinnya ky'ebisasiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala omukono gwa Mukama Katonda guliwummulira ku lusozi luno, naye Mowaabu alirinnyirirwa wansi we, ng’essubi bwe lirinnyirirwa okukolamu ebijimusa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ku lusozi luno omukono gwa Mukama kwe guliwummulira, era Mowaabu alirinnyiririrwa mu kifo kye, ng'ebisasiro bwe birinnyiririrwa mu mazzi ag'olubungo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama alikuuma Olusozi luno Siyooni, naye Abamowaabu balirinnyirirwa ng'ebisubi bwe birinnyirirwa ku ntuumu y'obusa okukolamu ebigimisa. Zef 2:8-11
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ku lusozi luno omukono gwa Mukama kwe guliwummulira, era Mowaabu alirinnyiririrwa mu kifo kye, ng'ebisasiro bwe birinnyiririrwa mu mazzi ag'olubungo.