Isaiah 25:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bajja kwanjalira ku kyo emikono ng'omuwuzi bw'ayanjala emikono ng'awuga. Omukama alikkakkanya okwekuza kwe, nga tafudde ku kutetenkanya kwa mikono gye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Aligolola emikono gye, ng’omuwuzi bw’agolola emikono gye ng’awuga. Katonda alikkakkanya amalala ge newaakubadde ng’emikono gye gikola eby’amagezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era alyanjuluza engalo ze wakati mu kyo, ng'awuga bw'ayanjuluza engalo ze okuwuga, era alikkakkanya amalala ge wamu n'enkwe ez'engalo ze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balyanjuluza emikono gyabwe, ng'omuntu awuga bw'agyanjuluza, kyokka Mukama alibamalamu olwetumbu lwabwe, emikono gyabwe ne gibulwa ageeyamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era alyanjuluza engalo ze wakati mu kyo, ng'awuga bw'ayanjuluza engalo ze okuwuga: era alikkakkanya amalala ge wamu n'enkwe ez'engalo ze.