Isaiah 25:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ekibuga okifudde ntuumu ya mayinja, ekibuga ekigumu okifudde ekifulukwa; ekigo ky'abagwira tekikyali kibuga; tekiriddayo kuzimbibwa nate.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibuga okifudde ntuumu ya bisasiro, ekibuga ekiriko ekigo okifudde matongo, ekibuga omwaddukiranga bannaggwanga tekikyali kibuga, tekirizimbibwa nate.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ekibuga okifudde ekifunvu; ekibuga ekyaliko enkomera okifudde amatongo, ekibuga ky'abagenyi okifudde obutaba kibuga; tekirizimbibwa ennaku zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga ekibuga okifudde matongo. Omenyewo ebigo byakyo ebigumu. Embiri z'abalabe baffe tebikyali bibuga era teziriddamu kuzimbibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ekibuga okifudde ekifunvu; ekibuga ekyaliko enkomera okifudde ebyagwa: eriyumba ery'abagenyi olifudde obutaba kibuga; tekirizimbibwa ennaku zonna.