Isaiah 25:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga obadde buddukiro bwa munaku; obuddukiro bw'omunaku mu buyinike, obwewogomo mu kibuyaga akunta, ekittuluze mu bbugumu. Kubanga omukka gw'abakambwe guli nga kikuŋŋunta afuuwa ekisenge,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala obadde kiddukiro eri abaavu, ekiddukiro eri oyo eyeetaaga, ekiddukiro ng’eriyo embuyaga n’ekisiikirize awali ebbugumu. Omukka gw’ab’entiisa guli ng’embuyaga ekuntira ku kisenge
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga wabanga kigo eri abaavu, ekigo eri abali mu nnaku abeetaaga, ekiddukiro eri kibuyaga, ekisiikirize eri ebbugumu, okuwuuma kw'ab'entiisa kulinga kibuyaga akunta ku kisenge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga oli kigo ekigumu abantu abanaku n'abaavu mwe bafunira ekiddukiro, ne bawonera omwo kibuyaga; ng'era kye kisiikirize mwe bawonera ebbugumu, kubanga obusungu bw'abakambwe buli ng'enkuba ekuba ku bisenge ng'erimu ne kibuyaga,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga wabanga kigo eri abaavu, ekigo eri atalina bintu ng'alabye ennaku, ekiddukiro eri kibuyaga, ekisiikirize eri olubugumu, okuwuuma kw'ab'entiisa bwe kubanga kibuyaga akunta ku kisenge.