Isaiah 25:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'ebbugumu mu nsi enkalu. Wakkakkanya oluyoogaano lw'abagwira; ng'ebbugumu mu kisiikirize ky'ekire, n'oluyimba lw'abakambwe bwe luggweerera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era ng’ebbugumu ery’omu ddungu. Osirisa oluyoogaano lw’abannaggwanga, era ng’ekisiikirize eky’ekire bwe kikendeeza ebbugumu, n’oluyimba lw’abakambwe bwe lusirisibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'olubugumu oluli mu kifo ekikalu bw'olikkakkanya bw'otyo oluyoogaano olw'abagenyi; ng'olubugumu bwe lukkakkanyizibwa n'ekisiikirize ky'ekire, oluyimba olw'ab'entiisa lulikkakkanyizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era buli ng'ebbugumu mu nsi enkalu. Naye ggwe, ayi Mukama, osirisizza abalabe baffe. Okkakkanya okuleekaana kw'abakambwe ng'ekire bwe kiweweeza ebbugumu ery'omu ttuntu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'olubugumu oluli mu kifo ekikalu bw'olikkakkanya bw'otyo oluyoogaano olw'abagenyi; ng'olubugumu bwe lukkakkanyizibwa n'ekisiikirize ky'ekire, oluyimba olw'ab'entiisa lulikkakkanyizibwa.