Isaiah 25:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lusozi olwo aliggyawo ekiremba ekibuutikidde abantu bonna, essuuka ebisse amawanga gonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lusozi luno alizikiriza ekibikka ekyetoolodde abantu bonna, n’eggigi eribikka amawanga gonna,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era alizikiririza ddala ku lusozi luno ekibikka kyonna ekyaliiriddwa ku bantu bonna, n'eggigi erisaanikidde ku mawanga gonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alizikiririza ku lusozi luno ennaku esaanikidde abantu, era ebuutikidde amawanga gonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era alimirira ddala ku lusozi luno ekibikka kyonna ekyaliiriddwa ku bantu bonna, n'eggigi erisaanikidde ku mawanga gonna