Isaiah 25:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
alizikiriza olumbe emirembe gyonna. Omukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna; aliggyawo obuswavu bw'abantu be mu nsi yonna, kubanga Omukama ayogedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era alimalirawo ddala okufa. Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna, era aliggyawo okuswazibwa kw’abantu be mu nsi yonna. Mukama ayogedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yamirira ddala okufa okutuusa ennaku zonna; era Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna; n'ekivume eky'abantu be alikiggya ku nsi yonna, kubanga Mukama akyogedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna, alizikiriza okufa kuggweewo, obutaddawo ennaku zonna. Alisangula amaziga mu maaso gonna, era alimalawo obuswavu bw'abantu be bwe baalina mu nsi yonna. Mukama yennyini ye ayogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yamirira ddala okufa okutuusa ennaku zonna; era Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna; n'ekivume eky'abaatu be alikiggya ku nsi yonna: kubanga Mukama akyogedde.