Isaiah 25:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo baliyimba nti: “Ddala, oyo ye Katonda waffe; twassa essuubi lyaffe mu ye n'atulokola; ono ye Omukama, tumwesiga; ka tusanyuke, tujagulize mu bulokozi bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo balyogera nti, “Eky’amazima oyo ye Katonda waffe; twamwesiga n’atulokola. Ono ye Mukama Katonda twamwesiga; tusanyukire mu bulokozi bwe, era tumujagulizeemu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kiryogererwa ku lunaku luli nti, “ Laba, ono ye Katonda waffe; twamulindiriranga n'atulokola, ono ye Mukama, twamulindiriranga, tusanyuke tujagulize obulokozi bwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale bwe kirituukirira, baligamba nti: “Mulabe, Katonda waffe wuuno. Tubadde tumulindirira, era anaatuwonya. Ye ye Mukama. Tubadde tumulindirira, era kaakano tusanyuka, era tujaguza, kubanga atuwonyezza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kiryogererwa ku lunaku luli nti Laba, ono ye Katonda waffe; twamulindiriranga, era alitulokola: ono ye Mukama, twamulindiriranga, tulisanyuka tulijaguliza obulokozi bwe.